Zabbuli 124

Zabbuli 124
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
1 Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.
 
6 Mukama atenderezebwe
atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
7 Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
naffe tuwonye!
8 Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.
Scripture text reproduced under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Original Scripture wording is unchanged; navigation and presentation are adapted under the same license. Original edition: Read on eBible.org. Full edition and license information.