Zabbuli 123

Zabbuli 123
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we*Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe,
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
 
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.

*Zabbuli 123:2 Mukama w’omuddu ne mugole w’omuddu omukazi baakozesanga bubonero okubaako kye bategeeza abaddu baabwe


Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.
Scripture text reproduced under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Original Scripture wording is unchanged; navigation and presentation are adapted under the same license. Original edition: Read on eBible.org. Full edition and license information.