Zabbuli 129

Zabbuli 129
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2 Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4 kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
 
5 Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
oguwotoka nga tegunnakula.
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8 Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

*Zabbuli 129:6 Obusolya bw’ennyumba z’omu Isirayiri zaalina ettaka waggulu ku zo eryali litabuddwamu evvu n’omusenyu. Enkuba bwe yatonnyanga, mwamerangamu omuddo, kyokka omuddo ogwo gwakalanga mangu ddala olw’omusana okugwakako kubanga emirandira gyagwo tegyagendanga wala wansi mu kasolya


Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.
Scripture text reproduced under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Original Scripture wording is unchanged; navigation and presentation are adapted under the same license. Original edition: Read on eBible.org. Full edition and license information.