Zabbuli 127

Zabbuli 127
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.
1 Mukama bw’atazimba nnyumba,
abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
abakuumi bateganira bwereere.
2 Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.
 
3 Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
5 Alina omukisa omuntu oyo
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.
Scripture text reproduced under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Original Scripture wording is unchanged; navigation and presentation are adapted under the same license. Original edition: Read on eBible.org. Full edition and license information.