Eseza 10

10
Obwatiikirivu bwa Moluddekaayi
1 Kabaka Akaswero n’asalira abantu bonna ab’obwakabaka bwe omusolo, abaabeeranga ku lukalu n’abo abaabeeranga ku bizinga. 2 Era ebikolwa bye byonna eby’obuyinza n’amaanyi ge, n’okutegeereza ddala obukulu bwa Moluddekaayi, Kabaka bwe yamukuza, byawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka b’e Bumeedi n’e Buperusi. 3 Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero mu buyinza, era yali mukulu mu Bayudaaya ate nga bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga yakolanga bulungi abantu be, ate era ng’ayagaliza ezzadde lye lyonna emirembe.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.
Scripture text reproduced under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Original Scripture wording is unchanged; navigation and presentation are adapted under the same license. Original edition: Read on eBible.org. Full edition and license information.